File Photo: Museveni nga yogeerako no mukyala
Omukulembeze w’eggwanga asabye abantu abali mu nkaayana z’ettaka e Kayunga okuzigyamu obulimba n’okuwayiriza era n’alabula bonna abaagala okwezza ettaka lyabanaabwe.
Eriya Lugenda y’agalina
file Photo: Abajaasi ba mawanga amagate
Mu ggwanga lya Central Africa Republic abajaasi b’amagye agakuuma ddemebe ag’ekibiina kyamawanga amagatte babalumirizza okukabasanya abakyala 3 okuli n’omuwala atanetuuka.
Kino kijidde mu kiseera nga abamu ku bakulembera amagye gano bagobeddwa ku mirimu olw’obuliisa manyi obweyongedde mu bajaasi.
Ekibiina ky’amaanga amagatte kitegezezza nga obuliisa maanyi buno bwebwakolebwa mu kibuga kye Bambari city.
Abajaasi…
File Photo :Ekimu ku bibiira mu Uganda
Ab’ekitongole ky’ebyebibira mu ggwanga balabudde abakola ku nsonga z’ettaka mu bitundu ebyenjawulo obutageza kugaba byapa ku ttaka lya kibira kyonna nga tebasoose kubebuzaako.
Omwogezi w’ekitongole kino Gilbert Kadilo ategezezza nga bannakigwanyizi ab’enjawulo bwebakkakanye ku ttaka ly’ebibira nebalyediza nga balina n’ebyapa byalyo.
Kadilo agamba ettaka ly’ebibira lyarambibwa bulungi kale nga terilina kutundibwa.
Omulanga…
File Photo: Museveni nga wubirako abantu
Okukyala kwa Pulezidenti Museveni mu district ye Kayunga olunaku olwalero kutandise okutamatemamu abakulembeze mu kitundu kino.
Waliwo abatuuze abakulembeddwamu obubaka omukyala akikirira district eno era nga ye minister omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’ettaka Aida Nantaba abaweze okwesamba emikolo gyino singa pulezidenti museveni takomya kukolagana n’ababba ettaka e Kayunga.
Nantaba nebanne bagamba tebagenda…
File Photo :Tinkasimire nga yogeera
Omubaka wa Buyaga County Bernabas Tinkasimire atenderezza government olwokukiriza okukubaganya ebirowoozo ku district empya kuddemu.
Weeki ewedde ababaka batabukira gavumenti n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwokubasubiza ebyooya by’enswa nadala abava mu district ye Kibaale, oluvanyuma lw’okubasuubiza disitulikiti ye Kagadi ne Kakumiro.
Tinkasimire agambye nti singa government ne pulezidenti Museveni tebatukiriza kweyama kwaabwe, kyakukosa…
File Photo:Baminisita ngabaali mu lutula
Olukiiko lwa ba minister lwakutuula olunaku olwalero okukubaganya ebirowoozo ku kutondawo municipality endala.
Minister avunanyizibwa ku government ez’ebitundu Adolf Mwesige yabadde asubirwa okulaga government ku kutondawo municipalite endala, wabula n’asaba awebwe obudde obulala asobole okwebuuza ku lukiiko lwa baminister.
Mwesigye agambye nti wadde nga government eyagala etondewo municipality endala 11, waliwo abalala abagala…
File photo:Ewakubwa bomu jebuwudeko mu Nigeria
Amawulire agava mu ggwanga lya Nigeria galaga ng’abantu 60 bwe batiddwa banalukalala ba Boko Haram.
Obulumbaganyi buno bukoleddwa ku kyaalo ekimanyiddwa nga Kukuwa musaza lye Yobe.
Amawulire galaga bwewaliwo abantu abalala abagudde mu Nyanja nga bagezaako okwetegula ekibambulira.
Aberabiddeko nagabwe bategezeza nga banalukalala bano bwe bakozeseza pikipiki okukola obulumbaganyi buno.
File Phot:Jimmy Rwamafa atuuse ku kooti ewozesa abalyaake
Eyali omuwandiisi mu ow’enkalakalira mu ministry evunanyizibwa kunsonga z’abakozi Jimmy Rwamafa atuuse ku kooti ewozesa abalyaake, okuddamu okuvunanibwa emisango gy’obukenuzi.
Lwamafa avunanibwa omusango gw’okubulankanya ensimbi obuwumbi 88 okuva mu kitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya NSSF.
Kino kyadirira kooti okuddamu okuyitta Rwamafa, eyali omubalirizi w’ebitabo mu ministry Christopher Obye ne Stephen…
File Photo: Embizi nga zisuridwa mu luguudo
Waliwo abavubuka abatanategerekeka abasudde obubizzi obusiigiddwa langi eya kyenvu ku luguudo lwa parliamentary avenue okuliraana olukiiko lw’eggwanga olukulu.
Obubiizi buno bubaddeko ebigambo ebisaba enongosereza ezanamaddala mu mateeka agafuga eby’okulonda ne Ssemateeka.
Wabula poliisi esobodde okujja bunambiro nekwaata obubizzi buno nga tebunayingira paliyamenti.
Kinajukirwa nti n’omwaka oguwedde waliwo abavubuka 2 abayingiza obubizzi mu…
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo okuva nga 27 omwezi guno okutuuka nga 10 omwezi ogujja okuwandiika abagala okwesimbawo okukulmbera abavubuka,abalema n’abakadde ku byalo.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa agambye nti bano bakufuna empapula z’okwewandiisa okuva mu bitebe bya Amagombolola.
Talemwa asabye bana uganda okutwala okulonda kuno ngakukulu, kubanga kwekuwa omusigge gw’obukelembeze bw’abavubuka, abakadde…