Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: admin

Kibuule asekeredde mbabazi

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni Ye minisita omubeezi akola ku by’amazzi Ronald Kibuule ategezezza nga ebigendererwa bya Mbabazi bwebitasobola kuyitamu kubanga bino byonna eby’okwesimbawo abikola lwa mulugube. Kibuule era asekeredde abagamba nti ekibiina kya NRM kyakunafuwa olwa Mbabazi okukyabulira. Kibuule ategezezza nga banayuganda bwebasanye okuwagira pulezidenti Museveni kubanga mukwano gwa Katonda ssi nga bannabyabufuzi nga Mbaabzi. Bino Kibuule…

Read More

Mbabazi amaze okugyayo empapula

File Photo: Mbabazi nga kutte foomu emukiliza okwesimba wo ku bwa pulezidenti Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi amaze okugyayo empapula z’okusunsulibwa okwesimbawo ku ky’omukulembeze w’eggwanga mu kalulu k’omwaka ogujja. Mbabazi wakwesimbawo nga atalina kibiina Abantu abalala 4 nabo bagyeyo empapula z’okwesimbawo ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga. Bano kuliko eyali amyuka ssenkulu w’ettendekero ly’e Makerere Venansius Baryamureebwa, Dr Deo Lukyamuzi,Fredrick Kunya…

Read More

Abagoba ba Taxi 10 badusiddwa mu ddwaliro

File Photo: Taxi mu Park Abagoba ba Taxi 10 badusiddwa mu ddwaliro lya Ntenjeru Health Centre 4 oluvanyuma lwokulwanagana okubaddewo ku mwalo gwe Katosi nga bagugulanira obukulembeze. Bano bavudde Mukono mu kibiina kya Ntenjeru Taxi and Lorry Owners nga bakulembeddwamu Edward Lyazi abagambibwa nti bebawangula tender okusolooza, nga babadde bazze kutandika emirimu naye nebalumbibwa ekiwayi ekikulembeddwamu Lubanga Dan,…

Read More

E`South Sudan neera balemeddwa okutukiriganya

File Photo:Abakulembeze be biwayi ekilwanira e South Sudan Gavumenti n’abayeekera mu ggwanga lya South Sudan neera balemeddwa okutukiriza nsalesale wa nga 17 August okuba nga bamalirizza okuteeka omukono ku ndagaano y’emirembe. Nsalesale ono yabaweebwa omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barack Obama bweyali asisinkanyemu abakulembeze b’amawanga ga Africa mu kibuga Addis Ababa mu ggwanga lya Ethiopia. Gavumenti egamba tebategeera bulungi…

Read More

Kutesa alabudde bannayuganda

File Photo: Kuteesa nga tudde Minisita w’ensonga z’amawanga g’ebweru Sam Kutesa alabudde bannayuganda abagufudde omulimu okutondawo obubiina okufera bannabyabufuzi mu biseera by’okulonda. Kutesa nga era ye mubaka w’e Mawogola bino y’abyogedde yebuuza ku balonzi ku kyalo Nambirizi. Agamba nga okulonda kusembera abagezigezi batandikawo ebibiina bino n’ekigendererwa okukamula omusimbi okuva mu bannabyabufuzi n’ategeeza nga ebibiina bino bwebisanye okugasa abantu…

Read More

Akakiiko akyambogo univasite kakutuula

File Photo : Abayizi be kyambogo Olukiiko olutwala ettendekero lye Kyambogo lwakutuula olwaleero okuteesa ku bakozi abatali basomesa ku ttendekero lino. Kino kiddiridde abakozi bano okugenda mu maaso n’akediimo kaabwe okutuusa nga gavumenti ebongezza ku misaala. Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Elly katunguka ategezezza nga bwebagala okusala amagezi engeri y’okuddukanya ettendekero mu kiseera kino nga abakozi bediimye.

Read More

Abasomesa ba ziunivasite bakunonyeleza kukutulugunyizibwa

File Photo: Abayizi nga batikidwa diguuri Nga akediimo k’abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti agawaggulu kayingidde wiiki eyokusatu, abakozi bano bataddewo akakiiko k’abantu 6 okutunula mu bigambwa nti abakozi bano batuntuzibwa abakulira amattendekero gyebava. Kino kiddiridde ebigambibwa nti abakulira amatendekero gano batiisizza okugoba abediimye. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abatali basomesa mu mkatendekero gano Jackson Betihama agamba baapangisizza dda bannamateeka…

Read More

Ab’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna bogede ku eboola

File Photo: Abasawo nga bafuyira edagala okuziyiza Eboola Ab’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna bategezezza nga bwebafunye eky’okuyiga oluvanyuma lw’ekirwadde kya Ebola okulumba amawanga agamu naddala mu Africa. Ebola yalumba Africa mu mwezi ogwokusatu omwaka oguwedde n’atirimbula abantu abasoba mu mutwalo okusinga mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia. Bingi ebikoleddwa okulwanyisa ekirwadde kino okuli n’okukola eddagala erikyagezesebwa.

Read More