
Ate bbo abantu 80 bebagaala okwesimbawo ku bukiise bwa palamenti ku tikiti y’ekibiina kya Democratic party nga era bagyeyo dda empapula.
Bano kuliko omubaka wa Busiro East Medard Ssegona , Rose Namayanja owa Bukoto East,ne Susan Namaganda omubaka omukyala ow’e Bukomansimbi.
Abalala kuliko Allan Ssewanyana ayagala ekya Makindye East seat ne Jude Mbabali ayagala ekya Bukoto central imu disitulikiti ye Masaka.
Omu ku baddykanya emirimu ku kibiina kya DP Peter Ssempijjaagamba basuubira abantu abawerako okugyayo empapula zino.