
Ye minisita omubeezi akola ku by’amazzi Ronald Kibuule ategezezza nga ebigendererwa bya Mbabazi bwebitasobola kuyitamu kubanga bino byonna eby’okwesimbawo abikola lwa mulugube.
Kibuule era asekeredde abagamba nti ekibiina kya NRM kyakunafuwa olwa Mbabazi okukyabulira.
Kibuule ategezezza nga banayuganda bwebasanye okuwagira pulezidenti Museveni kubanga mukwano gwa Katonda ssi nga bannabyabufuzi nga Mbaabzi.
Bino Kibuule nga era ye mubaka wa Mukono North abyogedde awaayo amabaati agasoba mu 500 eri ekeleziya ye Bulijjo mu gombolola ye Kyampisi.