
Mu ggwanga lya China abatuuze mu kibuga kye Tianjin amaka gaabwe agasanyizibwawo okubwatuka kw’ekkolero lya gavumenti basitudde okwekalakaasa nga baagala gavumenti ebaliyirire.
Bano bagumbye wabweru wa woteeri ya Mayfair nga bagamba nti okugyako nga baliyiriddwa teri kuva mu kifo kino.
Abantu abasoba mu 50 bebafiira mu kubwatuka kuno n’abasoba mu 70 nebabuuka n’ebisago ebyamanyi.