Bya Ruth Anderah.
Olunaku olwaleero kooti ekola ku misango gy’obukenuzi lwegenda okuwa ekibonerezo eri abantu basatu abaasingisiddwa emisango egyekuusa ku kufiiriza egwanga ensimbi obuwumbi 24 mu kuzimba oluguudo olwe Mukono-Katosi-Kisoga-Nyanga .
Olunaku olw’eggulo omulamuzi wa kooti eno Justice Lawrence Gidudu yakalize abantu basatu okuli Joe Semugooma eyali akola ku by’ensimbi mu UNRA , Wilberforce Senjaako eyali omubalirizi w’ebitabo bya UNRA nga bano baalemwa okwekebejja obulungi company eya EUTAW nga tebanagiwa nsimbi obuwumbi 24.
Ate ye omusuubuzi Apollo Senkeeto,yasingisiddwa omusango ogw’okwefuula kyatali nabba ensimbi zino obuwumbi 24 nga yeefudde akulira company ya EUTAW Mississippi ekitaali kituufu.
Abalala ababade bavunaanibwa mu musango guno kuliko Eng. Abraham Byandala, Eng. Berunado Sebuuga, Marvin Baryaruha, ne Isaac Mugote wabula bano kooti yabajjeko omusango guno.