File Photo : Abayizi be kyambogo
Olukiiko olutwala ettendekero lye Kyambogo lwakutuula olwaleero okuteesa ku bakozi abatali basomesa ku ttendekero lino.
Kino kiddiridde abakozi bano okugenda mu maaso n’akediimo kaabwe okutuusa nga gavumenti ebongezza ku misaala.
Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Elly katunguka ategezezza nga bwebagala okusala amagezi engeri y’okuddukanya ettendekero mu kiseera kino nga abakozi bediimye.
File Photo: Abayizi nga batikidwa diguuri
Nga akediimo k’abatali basomesa mu matendekero ga gavumenti agawaggulu kayingidde wiiki eyokusatu, abakozi bano bataddewo akakiiko k’abantu 6 okutunula mu bigambwa nti abakozi bano batuntuzibwa abakulira amattendekero gyebava.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti abakulira amatendekero gano batiisizza okugoba abediimye.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abatali basomesa mu mkatendekero gano Jackson Betihama agamba baapangisizza dda bannamateeka…
File Photo: Abakurila amagye ge Nigeria
Omukulembeze w’eggwanga lya Nigeria Muhammadu Buhari awadde abaduumizi b’amagye ge emyezi esatu gyokka okuba nga bamaze okufufugaza abakambwe ba Boko Haram.
Nsalesale ono amuwadde alayiz abaduumizi bano abapya beyalonda omwezi oguwedde.
Abakadde Bukhari yabagoba bweyategeeza nti emirimu gyali gibalemye.
File Photo: Abasawo nga bafuyira edagala okuziyiza Eboola
Ab’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna bategezezza nga bwebafunye eky’okuyiga oluvanyuma lw’ekirwadde kya Ebola okulumba amawanga agamu naddala mu Africa.
Ebola yalumba Africa mu mwezi ogwokusatu omwaka oguwedde n’atirimbula abantu abasoba mu mutwalo okusinga mu ggwanga lya Guinea, Sierra Leone ne Liberia.
Bingi ebikoleddwa okulwanyisa ekirwadde kino okuli n’okukola eddagala erikyagezesebwa.
File Photo:Ekipande kya Mbabazi ekya kampeyini
Nga akalulu ka 2016 kakubye kkoodi, ab’ekitongole kya KCCA bataddewo amateeka amakakali ku by’okutimba ebipande.
Akulira ekitongole kino Jennifer Musisi agamba teri kukkiriza Muntu yenna kutimba kipande nga tafunye lukusa nga bangi bajamawaza ekibuga.
Musisi agamba balabudde buli gwekikwatako nga okusooka baalabudde aba NRM abantu baabwe abasinga okumansa ebipande mu kibuga.
File Photo: Olugudo lwa Entebbe express highway
Akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kalagidde abantu basatu abaliyirirwa mu kuzimba oluguudo lwa Entebeb Express Highway oluyita mu ttaka lyabwe bakeberebwe endaga butonde mu nkola ya DNA.
Muhammed Kamoga, Hussain Mugumya ne Richard Ssempagala bonna abatuuze be Nakigalala bategezezza akakiiko nti tebajjukira linya lya jajjabwe sso nga balina…
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumanti ogwa Democratic Alliance gukkiriziganyizza ku ngeri gyebagenda okulonda agenda okubakwatira bendera mu kalulu ka 2016.
Ssentebe w’omukago guno Prof Fredrick Ssempebwa agamba essaawa yonna abakulembera omukago guno bakutegeeza ebibiina ne bannayuganda ku kyebasazewo.
Ssempebwa agamba enteekateeka eno yakuteekawo obwasseruganda mu bibiina ebivuganya gavumenti nga okulonda kukubye kkoodi.
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
Teri Muntu agenda kwezimbawo ku kifo kyonna mu kulonda kw’omaka ogujja agenda kukkirizibwa kukozesa kabonero kake nga omuntu.
Akola nga Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwa agamba baakakasizza obubonero 10 obugenda okukozesebwa abagenda okwesimbawo nga abatalina bibiina.
Obumu ku bubonero obukakasiddwa kuliko eggaali, ensuwa, essaawa, entebe, ekikopo lediyo n’obulala.
Waliwo abayudaaya bakalittima abatekedde enyumba omuliro nga mulimu omwana omuwere.
Omwana myezi ono nga munaansi w’eggwanga lya Palestine y’afiiridde mu muliro guno oluvanyuma lwabakalittima bano okuteekera enyumba mw’abadde omuliro mu kitundu kya West Bank.
Bino byonna bibadde ku kyalo Kfar Douma kumpi n’ekibuga Nablus nga era omwana ono y’abadde yebase webamukumiddeko omuliro.
Bbo bazadde be babuuse n’ebisago by’omuliro…
File Photo: Abavuubi Ekalangala abategese okwekalakasa
Abavubi ku Nyanja Nalubaale balangiridde
okwekalakaasa okunasuula nemiti nga bemulugunya ku musolo omugya
ogwabatekeddwako.
Bagambye bakusitula ebikola byabwe ppaka ku parliament bagala yeeba eyingira mu nsonga.
Omusolo guno gugenda kutandika okukola mu mwezi gwomunaana. Balayiriradde obutaddamu kukwata nkasi ssinga gavummenti teyekyusa.
Bano okuva ku myalo egyenjawulo bavumiridde ekya gavumenti okutiitiibya ba musiga nsimbi abagwiira, ate…