
Teri Muntu agenda kwezimbawo ku kifo kyonna mu kulonda kw’omaka ogujja agenda kukkirizibwa kukozesa kabonero kake nga omuntu.
Akola nga Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwa agamba baakakasizza obubonero 10 obugenda okukozesebwa abagenda okwesimbawo nga abatalina bibiina.
Obumu ku bubonero obukakasiddwa kuliko eggaali, ensuwa, essaawa, entebe, ekikopo lediyo n’obulala.