Waliwo abayudaaya bakalittima abatekedde enyumba omuliro nga mulimu omwana omuwere.
Omwana myezi ono nga munaansi w’eggwanga lya Palestine y’afiiridde mu muliro guno oluvanyuma lwabakalittima bano okuteekera enyumba mw’abadde omuliro mu kitundu kya West Bank.
Bino byonna bibadde ku kyalo Kfar Douma kumpi n’ekibuga Nablus nga era omwana ono y’abadde yebase webamukumiddeko omuliro.
Bbo bazadde be babuuse n’ebisago by’omuliro ebyamanyi nga n’abenganda ze abalala nabo baalumiziddwa.