Bazadde b’abaana bakiggala n’abalafubanira eddembe ly’abaana bano baagala gavumenti mu bukiika kkono ezimbeyo essomero lya secondary eryabakiggala basobole okweyongerayo n’emisomo gyabwe.
Bano bagamba eggwanga lifiirwa ebitono bingi ddala kubanga absinga ku bakiggala olumala okusoma pulayimale awo webakoma olw’okubulwa amasomero ga secondary agasobola okubasomesa mu ngeri gyebategeera.
Bino byonna binokoddwayo mu lukiiko olutegekeddwa ab’ekibiina kya Sign Health Uganda…
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kizza Besigye asekeredde gavumenti ku ky’okukozesa eryanyi okugumbulula obwegugundo bw’aboludda oluvuganya gavumenti.
Mu lukungaana lw’akubye e Iganga , Besigye ategezezza nga n’ebyokulwanyisa eby’amagye bwebitasobola kulwanyisa nkyukakyuka.
Besigye era ateeredde pulezidenti Museveni Akaka nga bw’ali omutitiizi ayiwa amagye ne poliisi okwagale okukanga bannayuganda abaagala enkyukakyuka.
Agenze mu maaso…
Bannayuganda abakebera amanya gaabwe ku nkalala z’abalonzi bakyali batono .
Okutimba enkalala zino kwakugendera ddala okutuusa nga 11 August ku bifo ebyenjawulo ewalonderwa.
Bakalabalaba 4000 bebawandisiddwa akakiiko k’ebyokulonda okutwala enteekateaka eno mu maaso.
Omusasi waffe Moses Ndaye ategezezza nga bw’atuuseko mu bifo ebyenjawulo nga abantu abekebera ku nkalala zino bakyali bamuswaba.
File Photo: Minista we bye ttaka Nantaba
Gavumenti esabiddwa okuteekawo akakiiko ak’enjawulo kanonyereze ku kibba ttaka mu bitundu bya Albertine ewasimwa amafuta.
Omulanga guno gukubiddwa ab’ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya Transparency International.
Okusinziira ku alipoota guekifulumizza olwaleero, abagagga bagenda mu maaso n’okwezza ettaka mu kitundu kino olwo nebafubutula bebasangako.
Akulira emirimu mu kibiina kino Kathleen Drophy ategezezza nga abantu…
Aba KCCA bamenye ebizimbe ebisoba mu 30 wali e Mbuya. Bino kuliko amayumba g’abapangisa, amaduuka ne garage okusinga eby’omusuubuzi Hajj Muhamad.Damulira. KCCA egamba nti bano bazimba mu kkubo nga era bazze babalabula okwamuka ekifo kino naye nga tebawulira Abantu abasinga kati bibasobodde era bali mu kusomba bintu byabwe nga tebanamanya wa wakulaga. Omu ku bakyala…
File Photo: Emere ku ma sowani
Omukazi atezze bba obutwa affe yedizze ebintu.
John Paul Musisi atemera mugyobukulu 35 nga mutuuze kukyalo Buwanga mu district ye Buvuma yakigudeko Maureen Nambajutte gwamaze naye emyaka 7 bwamutezze obutwa mu Bongo.
Musisi gwetusanze mudwaliro e Mulago alumirizza mukyala we okumujja mu budde olwebyobuggaga bwe nti ekyo bwekitamumalidde Nambaju yamulumbye munimiro namukuba…
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka wano mu Kampala akakubirizibwa ssentebe Robert Migadde kakubidde KCCA omulanga okubaako nekyekola ku ttaka ly’essomero lya batvalley primary school land eryedizibwa amakanisa nabantu abalala.
Mu nsisinkano ya KCCA n’abamu ku batuula ku kakiiko kano okuli Olivia Kabale, Wilfred Niwagaba n’abalala, bategezezza nga abantu bano abelemeza ku ttaka ly’essomero bakyankalanya…
omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabiddwa okukkiriza enkyukakyuka mu ggwanga Uganda bweba yakweyagalira mu mirembe egyaletebwa ekibiina kya NRM.
Omulanga guno guklubiddwa eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya wakati mu bunkekenke nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016.
Bukenya agamba Museveni asaanye okumanya nti bannayuganda benyumiriza mu kirembe gyeyaleeta wabula nga yessaawa ave mu buyinza kubanga aludde mu…
Bbo ab’oludda oluvuganya gavunmenti bakyagenda mu maaso n’okukolokota gavumenti ku by’okukwata Besigye ne Mbabazi olunaku lweggulo.
Besigye y’akwatiddwa agenda kukuba kampeyini ku anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016.
Akulira abakyala mu FDC Winnie Kiiza ategezezza nga poliisi bwekyakozesebwa gavumenti okutuntuza bannayuganda.
Agamba eggwanga lyalonda okudda ku nkopla y’ebibiina ebinji wabula nga kati enkola ya demiokulasiya…
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi aweze obutapondooka ku nteekateekaze ez’okwebuuza ku balonzi be.
Olunaku lw’eggulo Mbabazi yakwatiddwa poliisi ku lutindo lw’e Njeru nga ayolekera e Mbale mu kwebbuuzakwe okwabadde kusooka era n’aggalirwa ku poliisi ye Kiira okumala esaawa eziwerako.
Nga ayogerako nebannamawulire nga yakayimbulwa , Mbabazi y’ategezezza nga bw’agenda okuwandiikira akakiiko k’ebyokulonda nga akyuusa mu nteekatekaze.
Wabula Mbabazi…