File Photo:Muzata ne Kirya
Bamaseeka bawanze muliro ku kutibwa kwamunaabwe Sheikh Hassan Kirya.
Muboogedde kwekubadde Sheikh Nuhu Muzaata Batte , nga ono aweze nti singa poliisi tevaayo nakunonyereza kwankomeredde ku banaabwe abazze batibwa bakwekalakaasa.
Ono era alagidde emizikiti okuli Nakasero ne William Street gigalwe nti gyegimu ku givuddeko enkaaya mu busiraamu.
Muzaata era alagidde ssentebe w’ensanji Hahh Abdul Kiyimba…
File Photo: Sheik Kirya eyatidwa
Ssabapoliisi wa uganda Gen Kale Kaihura bwategeezeza nga mukaseera kano naye bwaswala okutunula ku bayisiramu buli kaseera nga azze okukungubagira abatidwa.
Bwabadde ayogerera mukusabira omulambo gwa Kirya e Kibuli kaihura agambye nti amazima gali nti police ne government eewulira amaloboozi, kko nokunyorwa kwabayisramu, wabula buli kisoboka kikolebwa okulaba nga abatemu bakwatibwa.
Omugenzi amwogedeko…
Abantu basaatu bebakakasidwa okuba nga bafiridewo mu kabenje ke motooka akaguude e
Nakirebe ku lwe Masaka era nga kabademu emotooka musaanvu rindirila agasingawo ku gurile lino
Minisitule y’ebyobulamu eteekateeka kukolagana na poliisi okulaba nga bavaayo n’etteeka ku nkozesa ya Asidi mu ggwanga.
Okusiziira ku kunonyereza okwakoleddwa ekibina ekigatta abantu abasimatuka asidi , abantu abasoba mu 400 bazze bayiirwa asidi okuva mu 1985.
Minisita w’ebyobulmu omubeezi avunanyizibwa ku guno naguli Dr. Chris Baryomunsi agamba bakizudde nti okulwanyisa enkozesa embi eya Asidi tekisoboka kutuukirizibwa Muntu…
Disitulikiti ye Kalangala erangiliddwa nga ekitundu ekikyasinze okubeeramu obulwadde obwa mukenenya mu gwanga lyona olw’obungi bw’abantu abalina obulwadde abeyongera buli kadde.
Bino byogedwa minister avunanyizibwa ku by’obulamu omubeezi Sarah Opendi, bwabadde alambula amalwaliro awamu n’abantu baabadde bajanjabibwa mu Gombolola ye Bujumba.
OKusinziira mu biwandiiko ebiri mu kitongole ekya Kalangala Forum for people living with Hiv Aids Network…
File Photo: Omuwagizi wa Besigye
Minisita omubeezi ow’ensonga z’amawanga amalala Okello Oryem alabudde bannayuganda okwewalira ddala okukyamukirira nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016. Oryem abadde ayanukulu omu ku bakugu mu nsonga z’ebyobufuzi Mwambusya Ndebesa eyategezezza nga Uganda bweyolekedde akasambattuko awatali pulezidenti Museveni. Wabula Oryem agamba embeera y’ebyobusufi eriro tesobola kuvaako mivuyo nga bwekyabadde mu ggwanga lya…
Poliisi enzinya mooto ekyagenda mu maaso n’okuzikiza omuliro ogukedde okukwata enyumba y’abaserikale ba poliisi mu nkambi e Nsambya. Famile z’abaserikale ezisoba mu 20 zezikoseddwa wabula akulira poliisi enzinya mooto Joseph Mugisa ategezeza nga mpaawo afiiridde mu muliro guno. Ekiviiriddeko omuliro guno tekinategerekeka. Sound.Mugisa fire cause/ Lug Wabula ye omu ku berabiddeko n’agage ategezezza nga bwewaliwo…
Palamenti eragidde minisita omubeezi ow’ensonga za tekinologiya Nyombi Thembo aveeyo n’okunyonyola ku nteekateeka y’okusesetuka okuva ku nkola ya analog okudda ku digito nga muno tv z’abantu abamu zagyiddwako dda.
Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga y’awadde ekiragiro kino oluvanyuma lw’abamu ku babaka ba palamenti okwemulugunya nti minisitule eno yapapye okugyako TV zabannayuganda nga tebatunulidde banaku abatasobola…
Ab’ekitongole ky;ebibira mu ggwanga balambudde ekibira kya Zirimiti mu gombolola ye Mpatta ne Ntenjeru nebagobagana nabasangiddwa nga batema emitti okusala embaawo.
Bano ababadde bakulembeddwamu Ssenkulu w’ekitongole kino mu gwanga Leo Twinomuhangi saako nakulira abakuuma ekibira kino.
Eno batayizza ababadde basala emiti nga basomba nembaawo emisana ttuku nebabuna emiwabo mu kibira.
Omuntu omu yakwatiddwa nebamutwala ku poliisi ye Ntenjeru…
Abayizi ku ttendekero ly’e Makerere bazzemu okwekalakaasa nga babanja ensimbi zaabwe ez’okwegezaamu mu byebasoma mu makampuni ag’enjawulo nga tebanatikirwa ezimanyiddwa nga eza Internship.
Abayizi bano bagamba nti balina okufuna 380,000 buli omu okubatambuza mu kwegezaamu kuno wabula nga tebanafuna yadde omunwe gw’ennusu.
Bagamba nti abakulira ettendekero lino baabategeeza nga ensimbi zino bwebaziteeka mu mirimu egyenjawulo mwebasobola…