Gerard Pique (ku kkono) ne Montserrat Pique
Montserrat Pique(ku kkono) ne Gerard Pique BARCELONA
Mwana mulenzi Gerard Pique owa Barcelona ne Spian yeesimye okubeera n’abazadde abamufaako ate nga nabo bakyali mbooko. Pique mutabani wa Joan ne Montserrat Pique, era twafunye omukisa okubalabako bwe baabadde bazze ku ddwaliro lya Teknon Clinic okulaba ku mukamwana waabwe Shakira eyabadde yaakamala…

LONDON
(omupiira)
Kituufu omugagga si muntu, akutta n’akugula! Obutafaananako n’abakyala ba kuno abakwata ensawo eza layisi, ye Victoria Beckham yeekwatira nsawo ya bukadde munaana (£2000). Yabadde ku wooteeri ya Notting Hill esangibwa mu kibuga London bwe yabadde atutte mutabaniwe Cruz okumugulira eky’okulya.
Victoria teyakomye ku nsawo, era yabadde ayambadde ggaalubindi ezisuubirwa okuba nga zaamumalako 1200,000= (£300), ekintu ekiraga…
LONDON
(Ggofu)
Kirabika Tiger Woods akyalina okubeera ku katebe ng’akyalinda olunaku lw’aliddamu okufuna omwagalwa.
Wabaddewo ebibadde by’ogerwa nti Tiger ali mu mukwano ne Lindsey Vonn avuga obugaali bw’omumuzira, naye omwogezi wa Vonn avuddeyo n’abiwakanya ng’agamba nti bakoma ku kya kuwayaamu kyokka.
Tiger ne Vonn baalabwako mu April ku mukolo Tiger gwe yali ategekedde abaana b’alabirira, kyokka Vonn agattako nti…
LONDON
(Ggofu)
Kirabika Tiger Woods akyalina okubeera ku katebe ng’akyalinda olunaku lw’aliddamu okufuna omwagalwa.
Wabaddewo ebibadde by’ogerwa nti Tiger ali mu mukwano ne Lindsey Vonn avuga obugaali bw’omumuzira, naye omwogezi wa Vonn avuddeyo n’abiwakanya ng’agamba nti bakoma ku kya kuwayaamu kyokka. Tiger ne Vonn baalabwako mu April ku mukolo Tiger gwe yali ategekedde abaana b’alabirira, kyokka Vonn agattako…
FLORIDA
Eyali muka Tiger Woods Elin Nordegren eby’okusula ng’omunaku yabikoowa, era w’osomera bino amaka g’azimba mu kitundu ky’abagagga ekya North Palm Beach mu Florida gali kumpi kuggwa.
Jjukira nti mwana muwala ono yafuna obuwumbi 260 ($100m), era kw’ezo kwe yatoola ezimuyambye okuzimba amaka gano agagenda okubeera nga gatemagana nga mukene era nga gasangibwa ku bbiici. Nordegren…
Peter Schmeichel yalaze nti n’ekitone ky’okuzina akirina, era bangi baasiimye.
MANCHESTER
Newankubadde asinga kumanyibwa lwa kukwatira Man United ggoolo mu gy’e 1990, Peter Schmeichel , 49, yalaze nti alina ttalanta eziwerako.
Schmeichel y’omu ku baalondeddwa okwetaba mu mpaka z’amazina ezitegekebwa Man United era nga ziyitibwa ‘Dancing with United’, era Gary Neville agenda kubeera omu ku balamuzi.
Gye buvuddeko Schmeichel…
MARBELLA
(Omupiira)
Abawagizi b’omupiira bagamba nti David Beckham ye muzannyi w’omupiira asinga okwettanirwa mu buli kanyomero ka nsi. Ku wiikendi Beckham yabadde ku kizinga ky’e Marbella mu Spain ng’akolera kkampuni ya Adidas akalango kyokka byana biwala byabadde bimwebulunguludde ng’oyinza okulowooza nti yabadde agaba ssente.
Mu kalango kano, Beckham yabadde alanga ngatto za Adidas empya era yazambadde n’atandika…
MANCHESTER
Kibeera kizibu oli okuvuga mmotoka ya bukadde 540 (£130,000) n’ekitakola mawulire oba abantu ne batagyegomba. Bw’atyo mwana mulenzi Mario Balotelli owa Man City yabadde agenzeeko ku ‘shoppingi’ kyokka yagenze okufuluma edduuka ng’abawagizi beebulunguludde mmotokaye ekika kya Bentley GT nga bagyekubizaako ebifaananyi.
Anti kyangu okumanya mmotoka eno kubanga Balotelli yagikyusa langi n’agisiiga ebifaanana eby’amagye,…