Abakozi mu ddwaliro ekkulu e jjinja bakanze nga bwebagenda okussa wansi ebikola olw’obutafuna musaala.
Bano bagamba nti okuva mu mwezi gw’omunaana omwaka oguwedde nga tebafuna yadde ekikumi ate nga bbo bakola, balya era banywa.
N’akulira eddwaliro lino akkirizza nti mu butuufu tebasasula bakozi kyokka n’akissa mu bizibu ebili mu ministry y’ebyensimbi erudde nga tewereeza nsimbi.