Skip to content Skip to footer

Peter Schmeichel amazina gamutabula

Peter Schmeichel ng'azina
Peter Schmeichel yalaze nti n’ekitone ky’okuzina akirina, era bangi baasiimye.

MANCHESTER

Newankubadde asinga kumanyibwa lwa kukwatira Man United ggoolo mu gy’e 1990, Peter Schmeichel , 49, yalaze nti alina ttalanta eziwerako.

Schmeichel y’omu ku baalondeddwa okwetaba mu mpaka z’amazina ezitegekebwa Man United era nga ziyitibwa ‘Dancing with United’, era Gary Neville agenda kubeera omu ku balamuzi.

Gye buvuddeko Schmeichel yeetaba mu mpaka za ‘Strictly Come Dancing’ kyokka yamalira mu kyamusanvu nga Fabrice Muamba amulaze ttaaci, naye ku luno yeewera nti banaawulira akamufaamu. Abalala abagenda okuzeetabamu kuliko Quinton Fortune, Ulrika Jonsson, Antony Cotton, Jennie McAlpine ne Camilla Dallerup agenda okuzina ne Schmeichel.

Leave a comment

0.0/5