Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke ngali wamu nabamu ku bakulembeze e Mukono balumbye essundiro ly’amafuta erizimbibwa mu kibuga kye Seeta okulinaana amasomero agawerera ddala asatu nebayimiriza omulimu guno.
Omubaka agamba bano bayingira nemu kubo ate mu koona ekyandivirako obubenje. Bbo aba China ababadde bazimba olulabye nga byononese nebetegula ekibabu.
Kati Nambooze ayise…
Kkooti e masaka olwaleero esuubirwa okusalwo oba ekkiriza abawagizi b’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi abakwatibwa okweyimirirwa oba nedda.
Bano baakwatibwa wansi w’etteeka ly’okukuba olukungaana oluimenya amateeka.
Omulamuzi w’eddaala erisooka Ann Komuhangi ku balaza y’awulira omusango gw’abavubuka abasatu bano ogw’okukuba olukungaana olumenya amateeka wali ku Kitaka Zone n’okutimba ebifananyi bya Mbabazi.
Abakwate bonna batuuze bomu Nyendo nga…
Fredrick Musisi Kiyingi
LWAMUKAAGA
Ghana ne Cape Verde
South Africa ne Mali
SSANDE
Ivory Coast ne Nigeria
Burkina Faso ne Togo
KAMPALA
Ttiimu musanvu ku munaana ezisigadde mu kikopo kya 2013 Orange Africa Nations Cup, musanvu zonna ziva mu West Africa nga ku zino mukaaga zikwatagana mu luzannya lwa ‘Quarter Final’ wiikendi eno.
Naye ku…
a.Van Persie. Y’akyasinze okulengera akatimba mu United sizoni eno kubanga yaakateeba ggoolo 22. b.Wayne Rooney.Yaakateebera United ggoolo 12 sizoni eno. c. Danny Welbeck Yaakateeba ggoolo emu yokka sizoni eno. d.Javier Hanandez. Sizoni eno yaakateeba ggoolo 14 mu mipiira gyonna.
OMUPIIRA
Omutendesi wa Man United agamba nti abateebi baalina mu kiseera kino omuli Robin van Persie, Wayne Rooney,…
Abawagizi nga baaniriza Mario Balotelli amangu ddala nga yaakatuuka mu Milan.
MILAN
Mwana mulenzi Mario Balotelli buli w’abeera effujjo limulondoola. Bwe gutyo bwe gwabadde nga Balotelli yaakamala okwegatta ku kiraabu ya AC Milan eyamuguze obuwumbi 82 (£20m) okuva mu Manchester City. Balotelli yabadde yaakava ku nnyonyi abawagizi abaabadde bamulindiridde ku wooteeri eyitibwa Giannino Restaurant ne batandika okukuba…
David Silva: City gwetunuulidde.
OMUPIIRA
Kiraabu ya Newcastle yali eragayizza oluvannyuma lw’okutunda Demba Ba, naye abazannyi Abafalansa be yaguze omuli Mapou Yanga-Mbiwa, Mathieu Debuchy, Yoan Gouffran ne musaayimuto Massadio Haidara basobola bulungi okubataasa Chelsea n’etasajjalaatira ku St. James Park.
Newcastle ne Chelsea
Omutendesi wa Chelsea Rafa Benitez mu kaseera w’abeera afunidde ku ssuubi ate ebizibu bimugwira n’asuula oba n’agwa …
RUBEN LUYOMBO
Ndagula
Endagula. Nga bulijjo nzize mbatuseeko endagula y’emipiira egiriyo wiikendi eno. Ate gwe wenna ayagala okufuna ebisingawo ku ndagula ez’enjawulo osobola okunkubira ku ssimu nnamba 0312225301 tusobole okukwatagana.
QPR 2 Norwich 1
Ebifo: QPR 17, Norwich 14. QPR awaka erina W-1 D-6L-5. Etaano egisembyeyo erinamu LWDDD. Norwich ku bugenyi erinayo W-1 D-2 L-6, etaano…
Abakugu bakizudde nti omuntu bw’abeera mu kifo ekilimu ebbugumu kikendeeza emikisa gye egy’okuzibikira emisuwa egili mu binywa.
Okunonyereza kuno kwakoleddwa ku bakyala emitwaalo 20 mu ggwanga lya America.
Abakugu bakizudde nti kino kiyinza okuba nga kiva ku kirungo kya vitamin D ekisangibwa mu musana.
Wabula ate abakugu bano beebamu balabudde nti kino tekisaanye kukozesebwa bantu kusiima mu musana…
Uganda ebaze ku lutalo lw’okulwanyisa omuze gw’okukecula abakyala mu mbugo.
Bino bizze ng’eggwanga lyeteekateeka okukuza olunaku oluvumirira ekikolwa kino olugenda okukwatibwa olunaku lw’enkya. Minister omubeezi akola ku byobuwangwa, Rukia Nakadama agamba nti abakyala abali mu bukadde 120 beebakeculwa buli mwaka ku lukalu lwa ssemazinga wa Africa.
Ku bano nno abakyala obukadde busatu beebafa. Nakadama agamba nti amawanga…
Poliisi esimbye nakakongo n’egaana okujja emisango ku balwanyisa enguzi abakwatiddwa olunaku lwajjo.
Bano ababadde batambulira mu kisinde kya balaza enzirugavu bakwatiddwa olunaku lwajjo nebaggulwaako emisnago egyekuusa ku kukuma mu bantu omuliro.
Olwaleero poliisi esisisinkanye abantu bano kyokka n’egaana ebyokubajjako emisango.
Amyuka akulira poliisi, Martin Ochola agamba nti bano okujjibwaako omusango kilina kusalibwaawo ssabawaabi wa gavumenti
Kyokka poliisi ebakkiriza okugenda…