MARBELLA
(Omupiira)
Abawagizi b’omupiira bagamba nti David Beckham ye muzannyi w’omupiira asinga okwettanirwa mu buli kanyomero ka nsi. Ku wiikendi Beckham yabadde ku kizinga ky’e Marbella mu Spain ng’akolera kkampuni ya Adidas akalango kyokka byana biwala byabadde bimwebulunguludde ng’oyinza okulowooza nti yabadde agaba ssente.
Mu kalango kano, Beckham yabadde alanga ngatto za Adidas empya era yazambadde n’atandika…
MANCHESTER
Kibeera kizibu oli okuvuga mmotoka ya bukadde 540 (£130,000) n’ekitakola mawulire oba abantu ne batagyegomba. Bw’atyo mwana mulenzi Mario Balotelli owa Man City yabadde agenzeeko ku ‘shoppingi’ kyokka yagenze okufuluma edduuka ng’abawagizi beebulunguludde mmotokaye ekika kya Bentley GT nga bagyekubizaako ebifaananyi.
Anti kyangu okumanya mmotoka eno kubanga Balotelli yagikyusa langi n’agisiiga ebifaanana eby’amagye,…