(omupiira)
Kituufu omugagga si muntu, akutta n’akugula! Obutafaananako n’abakyala ba kuno abakwata ensawo eza layisi, ye Victoria Beckham yeekwatira nsawo ya bukadde munaana (£2000). Yabadde ku wooteeri ya Notting Hill esangibwa mu kibuga London bwe yabadde atutte mutabaniwe Cruz okumugulira eky’okulya.
Victoria teyakomye ku nsawo, era yabadde ayambadde ggaalubindi ezisuubirwa okuba nga zaamumalako 1200,000= (£300), ekintu ekiraga nti ye mu by’okwambala teyeemotyamotya.
Jjukira nti Victoria y’omu ku boolesi b’emisono abasinga mu nsi yonna, kati n’olwekyo bwe kuba kwambala tomala gamusaagirako.
