
Bamaseeka bawanze muliro ku kutibwa kwamunaabwe Sheikh Hassan Kirya.
Muboogedde kwekubadde Sheikh Nuhu Muzaata Batte , nga ono aweze nti singa poliisi tevaayo nakunonyereza kwankomeredde ku banaabwe abazze batibwa bakwekalakaasa.
Ono era alagidde emizikiti okuli Nakasero ne William Street gigalwe nti gyegimu ku givuddeko enkaaya mu busiraamu.
Muzaata era alagidde ssentebe w’ensanji Hahh Abdul Kiyimba okwamuka omukolo gw’okusabira omugenzi Kirya kubanga yoomu ku bavuddeko enkayana mu busiraamu.
Mungeri yeemu obwakabaka bwa Buganda buvumiride ebikolwa by’ettemu .
Obubaka bwa Katikiro obutikiddwa butikidwa owekitiibwa Ahmed Lwasa , nga ono ategezezza nga poliisi bwesaana okwongera okunonyereza ku nsonga eno bazuule abatemu bano.
Ate okuvva e Mulago tutegeezedwa nti omu ku baalumiziddwa mukavuyo kano bali mu dwaliro e Mulago
Omu kubano Daniel Okumu mukaseera kano ali mu bulumi obutagambika,nga abaswo balinda poliisi okubakkiriza okumulongoosa.
Mungeri yeemu gavumenti ewaddeyo obukadde 10 okukola ku kuziika kwa sheikh Kirya.
Obubaka buno buweereddwayo amyuka ssabaminisita w’eggwanga owokusatu Gen. Moses Ali
Wabula abakungubazi bangodde Gen Ali ku muzikiti e Kibuli oluvanyuma lw’okutegeeza nti buli awulira nti ssimumativu n’ebyokwerinda by’eggwanga agende yesimbewo.
Ono katono bamusikeko akazindaalo wabula n’atasibwa Sheikh Nuhu Muzaata.
Moses Ali ategezezza nga gavumenti bweri enetegefu okuwa bannayuganda bonna obukuumi yadde nga wakyaliwo okusomozebwa okutonotono.