
Kasese galaga nga embeera bwekyali yabunkenke, nga kino kidiridde emigga okuli Nyamwamba ne Nyamugashani okubimba olwenkuba ebadde efudemba ensangi zino.
Agavaayo galaga nga amataba bwegazinzeeko edwaliro elye kitembe , eranga mukaseera kano abaduukirize bagezaako okugyayo abalwadde ababade mu dwaliro lino.
Twogedeko ne mayor we kasese Godfly Kabyanga natutegeeza nti amazzi gano gayingidde namasomero gonn agasangibwa mukiko kye Nyamwamba, songa nekibuga kye Bulembya kibulidde mumazzi .
Mukaseera kano abatuuze bonna bamazze okwamuka amakaagabwe.