Minisitule y’ebyobulamu eteekateeka kukolagana na poliisi okulaba nga bavaayo n’etteeka ku nkozesa ya Asidi mu ggwanga.
Okusiziira ku kunonyereza okwakoleddwa ekibina ekigatta abantu abasimatuka asidi , abantu abasoba mu 400 bazze bayiirwa asidi okuva mu 1985.
Minisita w’ebyobulmu omubeezi avunanyizibwa ku guno naguli Dr. Chris Baryomunsi agamba bakizudde nti okulwanyisa enkozesa embi eya Asidi tekisoboka kutuukirizibwa Muntu omu wabula okukwatiza awamu.