
Abantu mu gombolola ye Kasawo n’ebyalo ebyetoloddewo bagamba tebafuna bujjanjabi bwetaagibwa okuva mu ddwaliro lya gavumenti erya Kiyagi Health Centre 2.
Bagamba eddwaliro lino libali wala nnyo atenga bwebatindigga eggendo okutuukayo babagamba teri eddagala ssonga n’abasawo balagajjavu.
Bino abatuuze babitegeezezza bannakyeewa aba Health Service Derivery abatalaaga nga bafuna endowooza z’abantu ku by’obujjanjabi mu kitundu kyabwe.
Bagambye nti bali mu kutya abakyala ab’embuto beebasinga okukosebwa mu mbeera eno, nabamu bajulidde nti mu ddwaliro waliyo ebikozesebwa ng’obuuma obukebera omusaayi ebyayitako.
Bongeddeko nti wadde balina amalwariro g’obwananyinni mu kitundu nga Nagalama naye ga buseere.