
Ab’ekibiina kya NRM bikyabasobedde ku ani owokuwagira mu Rubaga North.
Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okugoba Singh Katongole okwesimbawo lwa munne Brian Tindyebwa okumuwawabira nti ebitabo bye tebiwera nebamusuuza akamyufu ka NRM.
Kati ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM Tanga Odoi tikiti y’agikwasizza dda Brian Tindyebwa eyasunsuddwa olunaku lw’eggulo nga ye ssabawandiisi w’ekibiina Kasule Lumumba teyakisiimye.
Katongole Singh atabukidde ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM Tanga Odoi n’amulumiriza okubeeramu kyekubirira era n’awera okwesimbawo nga atalina kibiina