
Omuntu omu awanuse ku loole waggulu gy’abadde ng’awerekera omuntu we okwuandiisibwa
Omusajja ono kigambibwa okuba ng’abadde atamidde era nga bw’avudde waggulu ate emotoka n’emilinnya ekigere ekimulese mu mbeera embi ddala
Abadde aweerekera meeya we Nansanga Wakayima ng’ono kati ayagala kukiikirira ba municipaali ye Nansana mu palamenti.
Ne kayunga waliwo omusajja omulala awanuse ku kimotoka n’afa.
Ono abadde awerekera omubaka omukyala Aidah Nantaba okusunsulibwa.
Nantaba asunsuddwa wabula nga tagidde ku tikiri ya kibiina kyonna .
Tikiti y’ekibiina yatwalibwa Juliet Nalunga
Wabula yewanye nga bw’amezze bamafiya ababadde baagala okumulemesa okuwandiisibwa.