
Omukazi atezze bba obutwa affe yedizze ebintu.
John Paul Musisi atemera mugyobukulu 35 nga mutuuze kukyalo Buwanga mu district ye Buvuma yakigudeko Maureen Nambajutte gwamaze naye emyaka 7 bwamutezze obutwa mu Bongo.
Musisi gwetusanze mudwaliro e Mulago alumirizza mukyala we okumujja mu budde olwebyobuggaga bwe nti ekyo bwekitamumalidde Nambaju yamulumbye munimiro namukuba akakumbi kumutwe wabula abadukirizze bebamuyambye nebakwatta omukyala ono nga kati atemezza mabega wamitayibwa.