Skip to content Skip to footer

KCCA eragidwa ku ttaka ly’essomero lya batvalley primary

 

 

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka wano mu Kampala akakubirizibwa ssentebe Robert Migadde kakubidde KCCA omulanga okubaako nekyekola ku ttaka ly’essomero lya batvalley primary school land eryedizibwa amakanisa nabantu abalala.

Mu nsisinkano ya KCCA n’abamu ku batuula ku kakiiko kano okuli Olivia Kabale, Wilfred Niwagaba n’abalala, bategezezza nga abantu bano abelemeza ku ttaka ly’essomero bakyankalanya abayizi nga basoma.

Omwogezi wa KCCA peter Kawuju wabula agamba esomero lino terili wansi wa KCCA wabula famile y\abayindi abalirinako obwananayini.

Kauju asabye gavumenti okufuba okulaba nti buli ssomero lyayo erifunira ekyapa okwewala ekibba ttaka.

Ku massomero 81 agali wansi wa KCCA , balinako ebyapa 8 byokka.

Leave a comment

0.0/5