omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabiddwa okukkiriza enkyukakyuka mu ggwanga Uganda bweba yakweyagalira mu mirembe egyaletebwa ekibiina kya NRM.
Omulanga guno guklubiddwa eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya wakati mu bunkekenke nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016.
Bukenya agamba Museveni asaanye okumanya nti bannayuganda benyumiriza mu kirembe gyeyaleeta wabula nga yessaawa ave mu buyinza kubanga aludde mu ntebe kubanga bangi ssibasanyufu.
Agamba Museveni asanye okutekawo engeri y’emirembe gy’agenda okuwaayo obuyinza mukifo ky’okulemesa enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.