Bya Damalie Mukhaye.

Eyaliko president w’ekibiina kya FDC Dr Col Kiiza Besigye atabukidde abantu ebeeyita ‘’Banasoma’’ , baagambye nti besambye omulimo ogw’okulungamya egwanga, kko n’okwetaba mukawefube ow’okununula egwanga okuva mu kyayise ‘’obuwambe’’.
Bwabadde ayogerera mu makaage wano e Kasangati Besigye agambye nti abantu bano beetwala nga abatalaba mbeera banna-uganda gy’ebayitamu, kyoka nga balina kinene kyebayinza okukola.
Kati ono agamba nti kigwana kikaanyizibweko nti tewabaawo omuntu yenna atambulira mu motokaye, wabula begatte kubanna-uganda abalala muntambula ey’olukale bagabane embeera.