Bbo ab’oludda oluvuganya gavunmenti bakyagenda mu maaso n’okukolokota gavumenti ku by’okukwata Besigye ne Mbabazi olunaku lweggulo.
Besigye y’akwatiddwa agenda kukuba kampeyini ku anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016.
Akulira abakyala mu FDC Winnie Kiiza ategezezza nga poliisi bwekyakozesebwa gavumenti okutuntuza bannayuganda.
Agamba eggwanga lyalonda okudda ku nkopla y’ebibiina ebinji wabula nga kati enkola ya demiokulasiya gavumenti egituulidde.