
Nga akalulu ka 2016 kakubye kkoodi, ab’ekitongole kya KCCA bataddewo amateeka amakakali ku by’okutimba ebipande.
Akulira ekitongole kino Jennifer Musisi agamba teri kukkiriza Muntu yenna kutimba kipande nga tafunye lukusa nga bangi bajamawaza ekibuga.
Musisi agamba balabudde buli gwekikwatako nga okusooka baalabudde aba NRM abantu baabwe abasinga okumansa ebipande mu kibuga.