Bya Malikh Fahad
Abantu 14 bafiridde mu kabenje, ddekabusa akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Kasijagirwa okulinaana essundiro lyamafuta erya Gaz, nga ketabiddwamu emmotoka 3.
Okusinziira ku berabiddeko, bus ebadde ewenyuka obuweewo, etomedde tkisi bwebadde egenzaako okuyisa.
Kati ne takisi namba UBC 995/C etomedde lukululana, ebadde eva e Mbarara ng.eyolekera Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Muhamadh Nsubuga akaksizza akabenje kano, nkatadde ku mugoba wa bus abadde adda e Kampala, avugisizza ekimama.
Mmotoka lukuluna evudde ku luguudo negwa mu kiwonvu, ekiri ku mabbali goluguudo.