Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: admin

Maj. Gen Julius Oketta awolerezza Museveni

File Photo: Aba UDPF nga batambuula Omu ku bakiikirira amagye ga UPDF mu palamenti Maj. Gen Julius Oketta awolerezza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ku bamukolokota nti aludde mu buyinza. Oketta agamba pulezidenti Museveni akyetegereza engeri gy’agenda okuwaayo obuyinza eri omujiji omuto. Nga ayogerako eri ba kaada abasoba mu 500 ku ssomero lya Pabbo Secondary School mu disitulikiti ye…

Read More

Prawit Wongsuwan ayogeedde ku batezze boomu

File Photo: Minisita wa Thailand nga lambuula amagye Minisita w’ebyokwerinda mu ggwanga lya Thailand ategezezza nga abateze bbomu mu ssinzizo mu kibuga Bangkok bwebabadde balubirira okutta abagwira okuzingamya eby’obulambuzi by’eggwanga. Prawit Wongsuwan aweze nga bwebagenda okuyigga abaakoze obulumbaganyi buno omwafiiridde abantu 21 n’abalala abasoba mu 120 nebabuuka n’ebisago ebyamanyi. Yekaalo ya Erawan Shrine lyerimu mu masinzizo agasikiriza abalambuzi…

Read More

Baddereva mu paaka ye Namayiba batisizza okwegungunga

File Photo: Baddereva ba Taxi mu lukunmwana Baddereva ne bananyini motooka mu paaka ye Namayiba batisizza okwegugunga balagge obutali bumativu kungeri nannyini paaka eno gyabayisaamu. Banno bagamba nti tebakyafuna basabazze olwenkolla nnannyini paaka eno gyeyateekawo ebanyigirizza. Badereva bagamba kublui Mmotoka eya buyonjo ereeta omusabazze mu paaka bagyijaako 3000 songa pikipiki bagyisolooza 2000 ekiretedde bano okugaana okuletayo abasabazze nekireeka…

Read More

Ogwa bateega boomu gudamu leero

File Photo: Abateberezebwa okuteega boomu Omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nebatta abasoba mu 70 guddamu okuwulirwa olwaleero mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Alfonse Owiny Dollo. Oludda oluwaabi lusuubirwa olwaleero okuleeta omu ku banonyereza ku musango guno okuva mu minisitule y’ebyokwerinda Robinson Rogers Namara awe obujulizi bwe. Abajulizi 30 bebakawa obujulizi ku bavunaanwa nga era abavunaanwa bano…

Read More

Mugamba ku Dr.Tanga Odoi

File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y kya NRM   Bbo abamu ku ba ssentebe b’ekibiina kya NRM basabye abakulu mu kibiina okugamba ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina Dr.Tanga Odoi gwebalumiriza okubayisa nga ekyokuttale. Mu nsisinkano gyebabaddemu ne ssabawandiisi w’ekibiina Justine Kasule Lulumba, ba ssentebe balumiriza Odoi okubayisa nga abalabe b’ekibiina. Nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina wano mu Kampala Salim…

Read More

EC egenda mumaso no kugaba foomu

File Photo: Mbabazi nga kutte foomu emukiliza okwesimba wo ku bwa pulezidenti Kko akakiiko k’ebyokulonda olwaleero kakugenda mu maaso n’okugaba foomu eri abo bonna abaagala okwesimbawo ku bwa pulezidenti. Olunaku lw’eggulo abantu mukaaga okuli Amama Mbabazi, n’eyali amyuka ssenkulu w’ettendekero ly’e Makerere Venancious Baryamureeba baggyeyo empapula z’okwesimbawo. Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba abo bonna abaggyayo empapula balina…

Read More

Mbabazi awandikidde akakiiko k’ebyokulonda

File Photo: Akulira Akakiiko ke byo kulonda Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi awandikidde akakiiko k’ebyokulonda nga akategeeza nga bweyalonze ekifananyi kya ngaali abuuka nga akabonero k’agenda okukozesa mu kampeyini. Kino kiddiridde ensisinkano eyabaddewo wakati wa Mbabazi n’akola nga ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwa nebannamateeka b’akakiiko. Mbabazi era asabye akakiiko k’ebyokulonda okukozesa langi y’akacungwa mu kampeyini ze.

Read More

Omusilikaale we kuumiro lye bisolo agudde munyanja

File Photo: Ebisoolo nga biri mu paaka Poliisi nga eri wamu n’abatuuze be Rweihamba mu disitulikiti ye Kabarole bali ku muyiggo gw’omuserikale w’ekkuumiro ly’ebisolo agambibwa okugwa mu Nyanja ye Nkaruba n’abbira bweyabadde agenze okuwuga. Kabarole erimu enyanja entontotono ezisoba mu 50 wabula nga ezisinga mpanvu nyo. Aduumira poliisi mu bitundu by’e Rwenzori Moses Elieu Osenga ategezezza nga Simon…

Read More

Amaka gasanyewo mu China

File Photo: Ekolero nga lyaka omurilo Mu ggwanga lya China abatuuze mu kibuga kye Tianjin amaka gaabwe agasanyizibwawo okubwatuka kw’ekkolero lya gavumenti basitudde okwekalakaasa nga baagala gavumenti ebaliyirire.   Bano bagumbye wabweru wa woteeri ya Mayfair nga bagamba nti okugyako nga baliyiriddwa teri kuva mu kifo kino.   Abantu abasoba mu 50 bebafiira mu kubwatuka…

Read More

Aba DP batandise okujjayo foomu

File Photo: Aba Democratic Party Ate bbo abantu 80 bebagaala okwesimbawo ku bukiise bwa palamenti ku tikiti y'ekibiina kya Democratic party nga era bagyeyo dda empapula. Bano kuliko omubaka wa Busiro East Medard Ssegona , Rose Namayanja owa Bukoto East,ne Susan Namaganda omubaka omukyala ow’e Bukomansimbi. Abalala kuliko Allan Ssewanyana ayagala ekya Makindye East seat ne Jude Mbabali…

Read More