
Minisita w’ensonga z’amawanga g’ebweru Sam Kutesa ayambalidde eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi nga bw’ali omunanfuusi era omuli w’enkwe awedde emirimu.
Kuteesa okwogera bino nga Mbabazi kyaggye eggyeyo foomu z’okusunsulibwa okwesimbawo ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga.
Bino Kuteesa abyogeredde mu lukungaana lwakubye mu gombolola ye Lugusuula gy’abadde mu kwebuuza ku balonzi be.
Kutesa alumiriza nti Mbabazi okwabulira NRM olw;’bigendererwa bye nga omuntu era n’asaba bannayuganda okutageza kumukombya ku kalulu kubanga ssi mukulembeze mwerufu.
Kutesa agamba Mbabazi mpawo kyayinza kutukiriza nga yesimbyewo nga atalina kibiina