
Ab’ekitongole ky’ebyebibira mu ggwanga balabudde abakola ku nsonga z’ettaka mu bitundu ebyenjawulo obutageza kugaba byapa ku ttaka lya kibira kyonna nga tebasoose kubebuzaako.
Omwogezi w’ekitongole kino Gilbert Kadilo ategezezza nga bannakigwanyizi ab’enjawulo bwebakkakanye ku ttaka ly’ebibira nebalyediza nga balina n’ebyapa byalyo.
Kadilo agamba ettaka ly’ebibira lyarambibwa bulungi kale nga terilina kutundibwa.
Omulanga guno wegujidde nga ettaka ly’ebibira liggwawo olw’abantu okulyesenzaako nga ate balina n’ebyapa.