Skip to content Skip to footer

Ba minisita bakutuula olwalero kuba municipalite endala.

File Photo:Baminisita ngabaali mu lutula
File Photo:Baminisita ngabaali mu lutula

Olukiiko lwa ba minister lwakutuula olunaku olwalero okukubaganya ebirowoozo ku kutondawo municipality endala.
Minister avunanyizibwa ku government ez’ebitundu Adolf Mwesige yabadde asubirwa okulaga government ku kutondawo municipalite endala, wabula n’asaba awebwe obudde obulala asobole okwebuuza ku lukiiko lwa baminister.
Mwesigye agambye nti wadde nga government eyagala etondewo municipality endala 11, waliwo abalala abagala municipality endala wamu ne zi disitrict, ekintu ekirina okutunulwamu.
Yo paliyamenti esubirwa okukubaganya ebirowoozo ku kuntondawo disitulikiti endala 23 akawungeezi k’olunaku olwalero.

Leave a comment

0.0/5