Aba kkampuni ya pioneer easy bus beesozze akafubo n'abawooza aba Revenue authority.
Kino kigendereddwaamu kulaba nti baasi zino zidda ku nguudo okusabaaza abantu.
Omu ku bakulira kkampuni ya pioneer ,John Masanda agamba nti basuubira URA okubaddiramu baasi zino ziddemu okukola.
Kati saabiiti nnamba nga baasi zino tezirinnya ku makubo nga mu kino abasinze okukosebwa beebasabaaze.
Omukazi e Rakai yewadde obutwa naafa lwabanja.
Rose Nantongo ow'emyaka ga a 38 abadde mutuuze we Byakabanga mu district ye Rakai akutuse atuusibwa mu dwaliro ekkulu erye Rakai.
Ono yeekamiridde obutwa lwabanja lya bukadde 4 ezibadde zimulemye okusasula.
Okusinziira ku akulira ebyokunoonyereza ku police ye Rakai Rose Nabakooza , bazudde obukebe bw'obutwa 2 mu nyumba y'omugenzi.
Omulambo gwomugenzi gutwaaliddwa…
Omusumba Zac Niringiye akkiriziddwa okugenda ku lugendo lwe.
Kiddiridde okuleeta paasipoota ye ne tikiti eraga nti abadde alina okugenda mu ggwanga lya Italy ku lunaku lw'okusatu.
Niringiye alabiseeko mu maaso g'amyuka akulira ba mbebga ba poliisi e Wandegeya Simon Asaba
Ono avunaanibwa kukuma mu bantu muliro n'okufulumya ebitali b ituufu mu katabo keyagaba eri abantu.
Bino byonna byekuusa ku…
Mu ggwanga lya Zimbabwe, waliwo omusawo atandise ounonyereza okuzuula oba sukaali awonya ebiwundu. Moses Murandu agamba nti yakula alaba kitaawe ng’assa sukaali ku mabwa. Ono agamba nti sukaali bw’omussa ku kiwundu akisikamu amazzi era ng’agoba obuwuka obwandiyingidde mu kiwundu.
Abawagizi b'eyali akulira ekitongole ekikessi Brig Henry Tumukunde bagumbye ku kooti y'amaggye enkya ya leero.
Bano bagamba nti omuntu waabwe aluddewo nnyo okusalirwa .
Basoose kubagaana kuyingira mu kooti kyokka nga bamaze nebabakkiriza okuyingira wakati mu by'okwerinda kasiggu.
Tumukunde avunaanibwa kwogera bigambo biseketereera gavumenti bweyali ku radio emu wano mu kampala.
Ono nno byeyayogera byaali byekuusa ku nsonag enkulu…
Katemba ku ttendekero e Makerere tanaggwa.
Abayizi bataano bakwatiddwa bwebabadde bagezaako owkekalakaasa enkya ya leero.
Abayizi bano bawakanya enkola ya university eragira buli muyizi okusasula ebitundu 60 ku buli kikumi ku fiizi.
Abakwatiddwa bayizi abakola amateeka.
Bbyo ebibiina ne ofiisi ezisinga ku ttendkero lino bikyaali biggale nga poliisi ekyagumbye okulaba nti tewabaawo kavuyo konna.
Aba Kampala capital city authority ng’eri wamu ne poliisi emenye obuyumba obwazimbibwa okumpi ne Arua Park.
Obuyumba obumenyeddwa mubaddemu aba Mobile money, abatunda emmere nga n’abe bigaali tebabatalizza.
Ekikwekweto ekibadde kikulembeddwaamu, aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano, James Ruhweza n’abakwasisa amateeka mu KCCA.
Mu kiwekweto kino omuntu omu akwatiddwa ng’akuumirwa ku poliisi ya CPS.
Abantu abeenjawulo aboogeddeko naffe bavumiridde engeri…
Ab’ekibiina kya NRM baanirizza ebyavudde mu kulonda kwe Butalejja .
Bano bagamba nti basanyufu nti yadde abavuganya baboogeredde ebigambo bingi, omuntu waabwe yasobodde okuwagula
Omwogezi w’ekibiina kino Mary karooro Okurut asuubizza ng’ekibiina kya NRM bwekitagenda kuyiwa bantu be Butalejja
Nebanda yawangudde n’obululu 27,388 nga yaddiddwaako Betty Hamba eyafunye obululu 12,150 votes.
Mu ky’okusatu owa FDC Felistus Namuhiriri n’obululu 3,393,…
Abakristu mu Uganda beekanze olw’amawulire g’okuekulira kwa paapka Benedicto owe 16.
Paapa ono ayogeddeko eri abakristu mu nsi yonna okusinzira e Vatican nga bw’agenda okulekulira ku nkomerero y’omwezi guno
Paapa ono ow’emyaka 85 tekinnategerekeka lwaki alekuliddde kubanga mu byafaayo abasing bazze bafa bufi
Paapa ono yatuuka ku buweereza buno mu Mwaka gwa 2005 ng’alina emyaka 78 era nga…