
Bya Shamim Nateebwa
Omusubuuzi atomedwa emotooka ya KCCA alaajanye bamuddukirire.
Sarah Namayanja owemyaka 40 nga mutuuze eKawempe – Lugoba atunda ebyokunywa mu ppaaka ankadde y’alajanye n’ategeeza nti kyamutuseeko atwalibwa mu kkooti aba KCCA.
Namayanja mukiseera kino ali mu ddwaliro e Mulago agamba nti bwe baabadde bagenda oluggi lweggudde n’avaamu n’agwa wansi ate emmotoka n’emulinnya okugulu,kyokka mukiseera kino talina ssente za kumujjanjaba kugulu kuba yabadde alabirira abaana be basatu okuva lwe yayawukana ne bba.
Asabye aba KCCA bamuyambe okumujjanjaba asobole okuwona kuba talina asobola kulabirira baana be.
Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju ategeezezza nga bwe yabadde tannafuna mawulire gonna gakwata ku mukazi eyamenyeddwa okugulu n’agamba nti ensonga zino agenda kuzinoonyerezaako azuule ekituufu.