Bya Damali Mukhaye
Omubiri gw’omugenzi John Ssebaana Kizito gutuusiddwa wali ku City hall.
Omulambo gwaniriziddwa loodi meeya Erias Lukwago wamu nebakansala abenjawulo nga era essaawa yonna wakubeerawo olutuula lwa kanso olwenjawulo okujjukira ebirungi ebikoleddwa omugenzi John Ssebaana Kizito eyaliko meeya wa Kampala.
Ssebaana y’afa nga July 3 ku ddwaliro lye Nakasero gyeyatwalibwa nga ali mu mbeera mbi nga…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Mukonon eriko namukadde owemyaka 69 gwegalidde nga kigambibwa yakakana ku muwala atannetuuka namukabasanya namutikka n’olubuto.
Omukwate mutuuze ku kyalo Namuloge mu ggombolola ye Nama mu district ye Mukono ng’omuwala gweyakabasanya abadde assoma kibiina kya 5 ku Wabunuunu P/S e Nama.
Okusinziira ku Maama w’omwana ono, Namwandu Nantume Sawuyah, omukadde ono yawola Taata w’omwana…
Bya Shamim Nateebwa
Omwana owemyaka 2 afiiridde mubulumi obutagambiika oluvanyuma olwokulumibwa embwa.
Rinnet Namakula abadde azannya ne bato banne wali e Kawanda eggana ly’embwa nelibalumba banne basobodde okudduka ye ne zimukwata ne zimukwagula okutuusa lw’afudde.
Omutuuze abadde agenda okulima y’awulidde omwana ng’akaaba era bw’agenze okulaba ekimutuuseeko n’asanga embwa nga zimutaagula n’azigoba ne zidduka.
Atte ye nyina w’omwana Catherine Namakula …
Bya Moses Kyeyune
Akakiiko ka palamenti akavunanyiaibwa ku makampuni ga gavumenti kayise ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura abitebye ku mivuyo gy’ettaka lya Centenary Park.
Olunaku lw’eggulo akakiiko kano kaalagidde aba Nalongo Estate okuleka ab’ekitongole ky;amazzi ekya National Water and Sewerage Cooperation okuyisa emidumu mu ttaka lino awatali kuwalira.
Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko Abdul Katuntu, baagal;a kulaba nga Kayihura…
Bya Gertrude Mutyaba
Omuyizi w'ekibiina ekyokusatu yetuze lwakitaawe kumugaana kulaba firimu.
Okusinziira ku kitaawe Dirisa Lubega nga muvuzi wa taxi e Masaka nga mutuuze wa Nyendo-Kayirikiti, mu gombolala ya Nyendo-Ssenyange, yaganye mutabani we ow’emyaka 12 okulaba firimu eza komando nga kino kyamunyiizizza naasalawo okufuna omusipi neyeetugira ku kitanda kya bazadde be.
Lameck Kigozi nga yaayogerera police mu bendo-bendo…
Bya Shamim Nateebwa
Kigambibwa okuba nti Joseph Opima ow’emyaka 35 nga mutuuze we Akright ku lw’e Ntebe sitaani amukemye n’asobya kumuwala we owemyaka 2 nga nyina agezze kuzaala .
Omwana aleeteddwa mu ddwaliro okukeberebwa nga akaaba, okusesema, okufulumya obubi wamu n'omusaayi.
Kitegerekese nti Opima poliisi ye Kajjansi okumutaasa ku batuuze y'amututte mu ddwaliro ly'e Ntebbe nga eno okuwoona…
Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda bwa kukungubagira Owek. Ssebaana mu ngeri ey’enjawulo mu lutuula lw’olukiiko ku Lwokusooka lwa wiiki ejja nga 17/7/2017.
Mukiwandiiko ekifulumizidwa kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga bebaziza omugenzi olw’obuwereeza eri Ssaabasajja Kabaka ne Buganda yonna okutwalira awamu.
Bendera z’obwakabaka nazo zijja kwewuubira mu makkati g’emirongooti ku lunaku lw’anaaziikibwa- ku Lwomukaaga 8/7/2017 mu Buganda…
Bya Magembe ssabbiiti
Abantu bana ababadde bazanya omuzanyo gwa Ludo mu kabuga ke Kalamba mu gombolola ya Kiganda eMubende bakubiddwa Laddu
bassatu kubo nebafirawo .
Okusinzira kuberabideko nga enjego eno egwawo bategezeezza nga
Laddu eno bwejidde mu lukubakuba olubadde lufuyirira kwosa
nekibuyaga owamanyi olwo banabwe abana (4) abakubiddwa babadde
batudde wansi wa muti nga bazanya Ludo .
Omuddumizi wa poliisi eMubende …
Bya Ritah Kemigisa
Eyali meeya wa Kampala John Ssebaana Kizito wakuziikibwa ku lwomukaaga ku bijja byabajjajaabe e Mpande- Kalule imu Bulemeezi.
Okusinziira ku benyumba wali e Kamwokya, omulambo gukyali mu bakola ku bafu aba Uganda Funeral Management e Kamwookya nga era okusinziira ku nteekateeka gwakujibwayo ku lwokuna.
Ku lunaku olwo wakati w’essaawa 2 ne 4 ezokumakya omugenzi wakutwalibwa…
Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margaret Mutonyi aliko omusajja gwasibye emyaka 30 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw’okusaddaka mukulu we afune obugagga.
Abdul Kawere owemyaka 19 omutuuze we Busukumu mu district ye Wakiso ngakola gwa lejjalejja ku kyalo yakiguddeko.
Oludda oluwaabi nga lukulebeddwamu Mallen Obizu, lutegezezza kooti nti Kawere yasaddaka muganda we Ibra Mbalangu…