Bya Moses Kyeyune
Akakiiko ka palamenti akavunanyiaibwa ku makampuni ga gavumenti kayise ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura abitebye ku mivuyo gy’ettaka lya Centenary Park.
Olunaku lw’eggulo akakiiko kano kaalagidde aba Nalongo Estate okuleka ab’ekitongole ky;amazzi ekya National Water and Sewerage Cooperation okuyisa emidumu mu ttaka lino awatali kuwalira.
Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko Abdul Katuntu, baagal;a kulaba nga Kayihura awa abagenda okuzimba obukuumi .
Gyebuvuddeko ab’ekitongole ky’amazzi baategezeza nti buli lwebagenda okuzimba waliwo bakanyama ababalemesa.