Bya Damali Mukhaye
Minisita y’ebyenjigiriza ebisookerwako alabudde abakulu b’amassomero abagaoba abayizi fiizi mu kiseera ky’okubawandiisa okugenda mu maaso.
Minisita Rosemary Sseninde agamba abamu ku bakulu bano bakozesa akakisa k’okuwandiisa okugenda mu maaso nebagoba abayizi nti atamalayo teri kumuwandiisa.
Anyonyola nti okuwandiisa kuno tekukwatagana na bya fiizi kubanga bbo baagala kumanya bayizi bameka abali mu massomero basobole okubateekeratekera obulungi.
Anyonyodde…
Bya Sam Ssebuliba
Poliisi esabye omubaka wa Kyaddondo East Omuggya Robert kyagulanyi amanyiddwa enyo nga Bobi Wine okugikwatizaako mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka mu kitundu kye.
Kino kiddiridde abavubuka bangi okumuyiira obululu nga 29 June Wiiki ewedde .
Kati bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasigye ategezezza nga abavubuka bangi bwebakkiririza mu Bobiwine sso…
Bya Stephen Mbidde
Eyali ssenkaggale w'ekibiina kya DP John Ssebaana Kizito afudde.
Omugenzi y'afiiridde mu ddwaliro e Nakasero gy'amaze wiiki ssatu ku kitanda ng'ajjanjabibwa.
Olunaku lw’eggulo embeera ya Ssebaana y’azzemu okutabuka ne bamuzza ku byuma ebiyamba okussa n'azzibwa ne mu kasenge k’abayi gye yasookera bamuwe obujjanjabi obw’enjawulo.
Ssebaana abadde y’asanyalala ku bwongo n’ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.
Wiiki ewedde, Ssaabasajja Kabaka ne…
Bya Anthony Wesaka
Essiga eddamuzi lyeyongeddemu ebizibu oluvanyuma lw’abalamuzi ba kkooti ento okutiisatiisa okwediima nga ne bannamateeka ba gavumenti kyebajje balaalike ku nsonga yeemu.
Mu kiwandiiko kyebaawerezza gavumenti, abalamuzi bano bagamba nti gavumenti baagitegezezza dda ku kigendererwa kyabwe okugyako nga embeera gyebakoleramu erongoseddwamu.
Nga 30 June abalamuzi bano wansi w’ekibiina ekibataba baasisinkanamu ssabalamuzi w’eggwanga mu ofiisi ye wano…
Bya Ruth Andera
Omusajja agambibwa okusangibwa ng’atunda ensenene mu kibuga gamumyuuse ng’atwalibwa mu komera e Luzira.
Gumisiriza Ambrose asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende namuvunanwa omusango gw’okutunda ensenene nga tafunye lukusa kuva mu Kitongole kya KCCA n’agukkiriza.
Wano omulamuzi Nabende w’amuweredde ekibonerezo kya kusibwa ennaku makumi 50 mu kkomera e…
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’omutindo kitongozza akabonero akapya akagenda okukozesebwa ku kirungo ekipya ekikozesebwa mu kutabula emmere y’enkoko wamu n’eyebyenyanja.
Ekirungo kino ekimanyiddwa nga INSFEED kikolebwa okuva mu biwuka nga ensenene n’ebirala .
Amyuka akulira ekitongole kino Patricia Ejalu agamba oluvanyuma lwokakasibwa, kati ekirungo kino kyakutandika okukozesebwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Eyakulembeddemu okunonyereza kuno okuva ku yunivasite…
Bya Ritah Kemigisa
Eyabadde minisita w’ebyobulambuzi omugenzi Maria Mutagamba olwalerro lwaziikibwa ku kyalo Gamba mu disitulikiti ye Rakai.
Olunaku lw’eggulo omubiri gw’omugenzi gwatwaliddwa mu palamenti okugukubako eriisa evvanyuma.
Wano sipiika wa palamenti weyasabidde gavumenti okukola ku yinsuwa z’okujanjaba bannayuganda basobole okufuna obujanjabi obusaanidde.
Omugenzi Mutagamba y’afa ekirwadde kya kookolo w’ekibumba ku myaka 65 era y’alese abaana 15 n’abazzukulu 26.
Mutagamba…
Bya Ben Jumbe
Akakiiko k’ebyokulonda kalabudde bonna abesimbyewo ku kifo ky’omubaka we Kyadondo okwewala okukuba kampeyini endala oluvanyuma lwa kampeyini okukomekerezebwa olunaku lw’eggulo mu butongole.
Olwokaano luno lulimu abantu 5 nga abamu baakubye nkungaana gagadde sso nga abalala baavudde nju ku nju.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama alabudde nti omuntu yenna anaasangibwa nga akuba kampeyini wakukolebwako nga…
Bya Damali Mukhaye
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwaleero naye asuubirwa e Kyadondo okukubira munna NRM William Sitenda Ssebalu kampeyini mu kulonda kuno okubindabinda nga ne kampeyini zikomekerezebwa olwaleero.
Munnamawulire wa pulezidenti Don Wanyama atutegezezza nti ssentebe w’ekibiina kino Museveni ayagala kuperereza balonzi balonde munnakibiina kye Ssebalu.
Era nno mungeri yeemu munna FDC Dr Kizza Besigye naye asuubirwa okwesogga…
Bya Damali Mukhaye
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bweketegekedde obulungi okuddamu okulonda kw’omubaka wa Kyadondo East.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lwa kkooti ejulirwamu okukkanya ne kkooti enkulu nebagoba Apollo Kantinti mu palamenti nti yazimuula amateeka g’ebyokulonda.
Abesimbyewo 6 kati mwezi mulamba nga banoonya akalulu era akulira eby’okulonda e Wakiso Francis Nkurunziza atutegezezza nti kampeyini zikomekerezebwa leero ku ssaawa…