Bya Ritah Kemigisa
Eyabadde minisita w’ebyobulambuzi omugenzi Maria Mutagamba olwalerro lwaziikibwa ku kyalo Gamba mu disitulikiti ye Rakai.
Olunaku lw’eggulo omubiri gw’omugenzi gwatwaliddwa mu palamenti okugukubako eriisa evvanyuma.
Wano sipiika wa palamenti weyasabidde gavumenti okukola ku yinsuwa z’okujanjaba bannayuganda basobole okufuna obujanjabi obusaanidde.
Omugenzi Mutagamba y’afa ekirwadde kya kookolo w’ekibumba ku myaka 65 era y’alese abaana 15 n’abazzukulu 26.
Mutagamba era y’ali omubaka omukyala owa disitulikiti ye Rakai okumala emyaka 15.