Bya samuel ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga YKM mu kaseera kano ali kubugenyi mu China asisinkanyeemu bannayuganda abakolera mu gwanga lino , naasuubiza okukola ku nsonga ezibakosa.
Ono okwogera bino amaze kuwulira kwogera okuvudde mu bannayuganda mukaaga nga bano bamutegeezeza nga bwebanyigirizibwa omusolo , songa agenda kukola nekunsonga ezinyigiriza abaagenda okusomesa abachina oluzungu.
Ye Ntumwa Birimumaso, nga ono yeyatandikawo Ubuntu Cafe, nga eno company etwala kaawa wa Uganda mu China agambye president nti agambe ku mukulu munne owa China kubanga emwanyi ensiike bazitekako omusolo munene
Mukwogera presient bano abagambye nti ensonga zaabwe waakuzigamba mukulu munne Xi Jinping owa China gwagenda okuwayaamu naye leero