Skip to content Skip to footer

Bobi Wine agamba nti tajja kusirika

Bya Benjamin Jumbe

Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu alayidde nti okufa nobutanyagwa, wakugenda mu maaso okulwanirira eddembe lyabantu.

Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ngali mu gwanga lya America, gyeyagenda okujanjabibwa.

Ono aweze nti ssi wakusirika, nga weyakoma wajja okutandikira ngakomyewo mu gwanga.

Bwabadde ayogerako nabomukutu gwa BBC Africa, omubaka Kyagulanyi agambye nti bann-Uganda tebasaanye kubeera na kutya.

Ono esaawa yonna assubirwa okwogerako eri banamawulire akakwungeezi ka leero, mu kibuga Washington DC.

Leave a comment

0.0/5