Bya Ivan Ssenabulya
Minister omubeezi owensonga zomukago gwa East African Community, yetemye engalike bwawakanyizza ebigambo nti nti bawandikira omyukubiriza wa palamenti ya Kenya nga bagala betonde olwababaka baayo bebagamba nti baavuma omukulembeze we gwanga kuno Yoweri Museveni.
Zaali ennaku zomwezi 30th ku nkomerero yomwezi oguwedde, Julius Maganda yategeeza nti Uganda yawandiika ebbaluwa eno ngagamba nti ababaka okwogera ku mbeera yebyobufuzi ekontana namateeka gomukago.
Bino byonna byali byekuusa ku kukuggalirwa kwomubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi.
Wabula olwaleero minister yoomu, agambye nti tewali bbaluwa yawandikibwa, ngagambye nti luno lugambo lwemikuttu muyunga bantu oba sovial media.