Skip to content Skip to footer

Abeesimbyeewo ku bukulembeze banasindana

File Photo:Abesimbye wo kubwa presidenti mu 2016
File Photo:Abesimbye wo kubwa presidenti mu 2016

Abesimbyeewo bonna ku bukulembeze bw’eggwanga bakakasizza nti bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa bannakyeewa.

Omukago gwa bannadiini n’olukiiko lw’abakuliridde mu ggwanga beebategese okusindana kuno n’ekigendererwa ky’okuwa bannayuganda akadde okulondako omukulembeze omutuufu.

Bano bakulembeddwamu akulira olukiiko omulamuzi James Ogoola agamba nti bamalirizza buli kimu era nga 15 omwezi lwelw’okutaano omwezi ogujja.

Ogoola agamba nti tewali yesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga agenda okukkirizibwa okusindika omubaka n’asaba abantu okulindirira

Avumiridde akavuyo akatandise okulabikako mu kulonda ng’agamba nti ezimu ku nsonga abesimbyeewo zebagenda okwogerako y’engeri y’okukuumamu emirembe

Leave a comment

0.0/5