
Emirimu gisanyaladde mu tawuni e Mbale oluvanyuma lw’abawagizi b’akwatidde ekibiina kya FDC bendera Col.Dr Kizza Besigye okwekeja nga balindirira omuntu waabwe.
Besigye ali mu gombolola ye Bugisu gy’ali mu kukuba enkungaana .
Abawagizi ba Besigye balabiddwako nga bambadde engoye za langi eya bululu ey’ekibiina kya FDC nga bwebayimba enyimba eziwaana ekibiina kye.
Wabula ne poliisi eyiriddwa mu tawuni okwewala efujjo lyonna nga bwekibadde mu bitundu ebirala.