Skip to content Skip to footer

Mulage egwanga omubaka Kyagulanyi bwali

Bya Sam Ssebuliba ne Benjamin Jumbe

Omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi agamba nti akutte ne ku mutwe, nga yewunaganya ate negri babaka banne gyebogeddemu nti omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi ali mu mbeer nnungi.

Kino kidiridde abababa okubadde Peter Ogwang nababala, Doreen Amule abalambudde omubaka okutegeeza nti ali mu mbeera nnungi.

Kati bwabadde ayogerako naffe, omubaka Kasozi nga yoomu ku babada ku kibinja kino abagenze ku nkambi yamagye e Makindye agambye nti omubaka Kyagulanyi tasobola kuyimirirra ku bubwe, atenga ali mu bulumi obwamanyi.

Kati asabye obukulembeze bwamagye okulaga omubaka ono, egwanga abantu bakakase ebyogerwa.

Ate gavumenti esabiddwa ekirize abamawulire okulaba ku mubaka Robert Kyagulanyi, okulagaegwanga ekifanyi ekituufu, ku bikwata ku mubaka ono.

Mu kiwandiiko kyafulumizza, presidenti Museveni yagambye nti omubaka ono ali mu mbeera nnungi.

Kati bwabadde ayogerako naffe, munamateeka womubaka Kyagulanyi Asuman Basalirwa, agamabye nti abamawulire bebanajjayo ekifanyi ekituufu.

Leave a comment

0.0/5