Bya Sadat Mbogo
Abakulembeze nabebyokwerinda mu district ye Gomba basattira oluvannyuma lwabantu abatannamanyika okusuula ebibaluwa bi kiro kitwala omunaku nga biwandiikiddwako ebigambo ebirabula abantu bonna obutaggulawo maduuka gaabwe nemirimu emirala nga bibalagira okwegugunga okuwaliriza gavumenti eyimbule abantu bonna abaasibibwa olwebyobufuzi okuli nomubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Mu bibaluwa bino, era balabula nokutuusa obulabe ku muntu yenna anaggulawo omulimu gwe, nga balabula nti balina okwegatta ku nteekateeka eno oba ssikyo, ebinaddirira tebejjusanga.
Police etutegeezezza nti waliwo abakwatiddwa 3 bajiyambeko mu kunonyereza nga mu kaseera kano bakuumibwa mu kaduukulu ka police ye Kanoni.
Mayor wa town council ye Kanoni, Fred Kuteesa agambye ebibaluwa byasuuliddwa mu kiro mu bitundu okuli Kanoni, Mpenja ne Kabulasoke.