Skip to content Skip to footer

Bataano bavunaniddwa lwakufuweeta ssegereti mu bantu

Bya Ruth Anderah

Abantu 5 bavunaniddwa n batwalibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakusangibwa nga bafuweta ssigala mu bantu.

Bano nga bakulembedwamu Decny Steven basimbiddwa mu kooti ya city hall mu maaso g’omulamuzi we ddaala erisosoka Beartrice Kainza abasomedde emisango wabula nebagyegaana.

Kigambibwa nti abavunanwa, nga 16th August 2018 ku kyalo Bbunga mu gombolola ye Makindye mu Kampala basangibwa nga banywa sigala mu lujudde.

Oludda oluwaabi lugamba nti ebikolwa byabano bireeta obulabe ku bulamu bwabantu.

Kati basindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa August 29th lwebanadizibwa batandike okuwerenemba n’emisango.

Leave a comment

0.0/5