Bya samuel Ssebuliba.
Ekibiina ekigatta banamateeka ekya Uganda law society kitegeezeza nga bwekimaze okubaga ekiwandiiko ky’ekitwala mu kooti nga kyemulugunya ku mbeera eyokutulugunya abantu egenda mu maaso wano mu Uganda omuli n’okukwatibwa kw’omubaka Robert Kyagalanyi.
Twogedeko ne ssentebe w’ekibiina kino Simon Peter Kinobe, nagamba nti entulugunya egenda mu maaso teyinza kusirikirwa , kale nga y’ensonga lwaki bavudeyo ku nsonga eno.
Ono agamba nti akade konna bakugenda mu kooti okuteekayo okwemulugunya kwabwe ku nsonga zino.