Bya Damali Mukhaye.
Akakiiko akakola ku nsonga z’edembe ly’obuntu aka Uganda human rights commission kategeezeza nga bwekatandise okukolagana n’amajje okulaba nga abasawo b’omubaka Robert kyagulanyi bakirizibwa okugenda bamukoleko newankubadde nga akyali mu komera.
Bwabade ayogerako ne banamawulire wali ku office zaabwe , akulira akakiiko kano Meddie kaggwa agambye nti bwebakyalidde omubaka ono mu komera e Makindye leero basanze nga yenna azimbye , era nga ali mubulumi obutagambika, nga n’okutambula abadde waakukwatirira.
Ono agamba nti kyebazudde kwekuba nti ono yatulugunyizibwa nyo nga yakakwatibwa , wabula nga atandise okutereera.